Psalms 69

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

1 aOndokole, Ayi Katonda,
kubanga amazzi gandi mu bulago.
2 bNtubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
3 cNdajanye ne nkoowa,
n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
4 dAbo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.

5 eAyi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

6Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
7 fNgumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 gNfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 hNzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 iBwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 jBwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 kAbo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 lNaye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 mOnnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 namataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.

16 oOnnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 pTokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
kubanga ndi mu kabi.
18 qOnsemberere onziruukirire,
onnunule mu balabe bange.

19 rOmanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 sOkusekererwa kunkutudde omutima
era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 tMu kifo ky’emmere bampa mususa,
era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 uAmaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 vBayiweeko ekiruyi kyo,
obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 wEbifo byabwe bifuuke bifulukwa,
waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 xKubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 yBavunaane omusango kina gumu,
era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 zBawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

29 aaNdi mu bulumi era mu nnaku;
obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 abNnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 acKino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 adAbaavu banaakirabanga ne basanyuka;
mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 aeKubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34 afKale eggulu n’ensi bimutenderezenga
awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 agKubanga Katonda alirokola Sayuuni,
n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36 ahAbaana b’abaweereza be balikisikira;
n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.
Copyright information for LugEEEE